Enjega Ye Kiteezi:Bakkansala ba KCCA baakukola alipoota ku bye bazudde
Bakkansala ba KCCA bakuwandiika alipoota ku byebazudde mu kifo kyekiteezi awaagwa enjega eyaviirako abantu 35 okufa oluvanyuma lwa kasasiro okuyigulukuka. Bano olwaleero balambudde ekifo kino okwongera okutegeera obuzibu kwebava. Kino wabula kigenze okujja nga gavumenti gyebuvuddeko yavayo netegeza nga bweli mukwetegereza enkalala zabo abaakosebwa basobole okubaliyirira.