Eng. Badru Kiggundu ayogedde bye yayitamu nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda
Eyaliko sentebe wa kakiiko k’ebyokulonda Eng Dr Badru Kiggundu avuddeyo kukusomozebwa kweyatitamu mu kisanja ekyemyaka 14 gyeyamala nga yakulira akakiiko k’ebyokulonda.Eng Dr Kiggundu agamba nti newankubadde yayita mukusomozebwa , yasigala akola emirimu gye mubwesimbu nga talina kyekubiira eri bannabyabufuzi abenjawulo.Bino abitadde mu katabo keyatuumye Stepping into the Unknown keyafulumiza kulwokutaano lwa wiiki eno mwayogerera ku minister eyamulumba mu wofiisi ye nga ayagala okumuwa abiragiro naye ono yasigala mugumu.Omusasi waffe Jjingo Francis katulambululire kubiri mu katabo kano.