ENDAGAANO Y’EMMWANYI: Akakiiko katandika okuginoonyerezaako wiiki ejja
Kitegeerekese nti ku mande ya wiiki ejja akakiiko ka palamenti ake'byobusuubuzi lwe kajja okutandika okunoonyereza ku ndagaano gavumenti gye yakoze ne kkampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited okugula n'okutunda emmwanyi za Uganda. Okusinziira ku ssentebe w'akakiiko kano Mwine Mpaka nnyini kkampuni eyaweereddwa kontulakiti Enrica Pinetti, Minisita w'ebyensimbi Matia Kasaija ne Ssaabawolereza wa gavumenti be bamu ku balina okulabikako eri akakiiko kano akasuubira okumaliriza omulimu gwako mu bbanga lya nnaku nnya zokka.