EMPAKA ZA RUGBY EZ’ENSI YONNA: Uganda yakusibira ku Lydia Namabiro
Nga ttiiimu y’eggwanga eya Rugby wa bakazi yetegekera oluzannya olusembayo olw’empaka za World Challenger series olugenda okubeera e Poland omwezi ogujja, olukoba yakulusibira ku musaayi muto Lyadia Namabiro.Ono abadde mpagi luwaga nyo mu nzanya ebiri ezasooka mu mpaka zino ate ne mu mpaka za Africa ezabadde e Ghana gyebawangulidde omudaali gwa Zaabu.