EMPAKA ZA CECAFA: Omutendesi Byekwaso alabudde Cranes ku Tanzania
Mu Mpaka za CECAFA ez’abali wansi w’emyaka 23 mu Ethiopia, tiimu ya Uganda etendekebwa Morley Byekwaso erindiridde kuzannya ne Tanzania ku Lwomukaaga mu luzannya lw’ebibinja olusembayo. Uganda okweyongerayo eteekwa okukuba Tanzania oba okukola amaliri. Omupiira ogwasooka yagwa maliri ne Democratic Republic of Congo. Byekwaso asuubira nti ku luno abavubuka bajja kukola okusingako mu mupiira ogwasooka