EMPAKA Z’EBIKONDE: Sebute waakuttunka ne Nsubuga
Munnayuganda Charles Mulindwa waakwatagana n’omukubi w’ebikonde Alex Kachwelwa okuva e Tanzania mu lulwana olutali lwa musipi olunabeera ku L’Aponye Hotel mu Kampala nga December 31. Wabula olulwana olulala wakati wa munnamagye Abdul Sebute ne Nsubuga Muhammad owa Poliisi lwe lumu ku zisuubirwa okukwata abawagizi omubabiro.