Empaka z’ebikonde: Junju Power wa kuttunka ne Mukasa
Oluvannyuma lw'ennwana ez'enjawulo mu bikonde by'ensimbi, omukubi w'ebikonde Junju Power olunaku olwenkya waakutunka ne Nicholas Mukasa mu lulwana lw'omusipi gw'eggwanga mu buzito bwa welter weight-kkiro 64 olunaku lwenkya ku Obligato mu Kampala. Mu ngeri y'emu n'abalwanyi ab'enjawulo okuli Fahad Mayombo, Justice Okello, Fahad Mulindwa baakubeera mu nsiike. Bano bonna bapimiddwa amakya ga leero.