EMPAKA Z’EBIKA BY’ABAGANDA: Empindi 2:1 Emmamba Kakoboza
Empindi ekubye Emmamba Kakoboza ggoolo 2 -1 ku kisaawe kya Old Kampala okwongera okutangaaza emikisa gyaayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’emipiira gy’ebika.
Brian Majwega ne Paul Mboowa be bateebedde Empindi ate Allan Mugalu n’ateeba ggoolo y’emmamba Kakoboza.
Mu mirala Endiga ekubye Abalangira ggoolo 1- 0 e Ekkobe ne liwangula Engoonge ggoolo 2 -1 ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu.