EMPAKA Z’AMASOMERO : Uganda ereebezza amawanga amalala mu ze arusha
Uganda esitukidde mu buwanguzi bw'empaka za masomero g'obuvanjuba bwa Africa oluvanyuma lw'okuwangula emiddali gya Zaabu 17 . Mu mizannyo egigaddewo empaka zino olwaleero St Noa Girls school Zana ekubye Wiyeta eya Kenya goolo biri kw'emu mu mupiira gwa bawala newangula ekikopo kino omurundi gwayo ogusoose.