EMISOMO N’EBYEMIZANNYO: Ababyettanira babikwasaganya batya?
Tekiba kyabulijjo abayizi abagata ebyemizannyo n’okusoma okuyitira mu dala erisooka ku mitendera egyenjawulo nga nebisera ebisinga kinonozebwa nti Katonda tagaba bibiri okuli ekitone mu byemizannyo namagezi mu kibiina.Wabula waliwo abayizi abazze baavunuka okusomozebwa kuno wadde nga bagamba nti tekiba kyangu kutukiriza byombi nga bwewandibadde oyagala.Twogedeko nabayizi banabyamizannyo abayise ebibuzo byabwe eby'omwaka oguwedde nebatubulira byebayiseemu.