Emisinde gya kabaka gitongozeddwa olwaleero n’ebinonoggo ebipya
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ayagala Gavumenti eyongere amaanyi mu ntekateeka z’okulwanyisa mukenenya, naddala mu kaseera kano nga abavujjirizi bagenze bakendeera.Bino Katikkiro abyogedde atongoza emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundu ogwe 12, era nga ne kumulundi guno ensimbi ezivaamu za kuteekebwa mu kulwanyisa mukenenya.Akulira Kampuni ya Nation Media Group Susan Nsibirwa, nga bano bebamu ku bavujirizi b’emisinde gyino, ayogedde lwaki baasazeewo okwegatta ku kaweefube ono