EMISANGO GY’OKULONDA: Ekitongole ekiramuzi kigamba kikyalina obudde
Abamu kubaavuganya okukiikirira abantu mu palamenti nebawangulwa bakukulumidde essiga eddamuzi olwokulwawo okuwulira owkemulugunya kwabwe kwebatwala mu kkooti . Bano bagamba nti ebbanga eriragibwa mutteeka ly'ebyokulonda okuba nga emisango gyonna egyebyokulonda gisalidwawo linatera okugwako nga tewali musango nagumu guwuliddwa . Kyoka essiga eddamuzi libagumizza nga ensonga zabwe bwezikolebwako nga emisango gyona egigwa mu kkowe lino gugenda kuwulira era gisalibwe.