EMIRAMBO MU KINNYA KYA KAZAMBI: Waliwo famire etabukidde poliisi
Ab'oluganda lw'abantu abagamba nti egimu ku mirambo egyasangibwa mu kinnya kya Kazambi e Kabowa mu division y'eLubaga kwandibaako ogwabwe bakukkulumye . Gad Namanya nga mukulu wa Ronald akaturinda agambibwa okubulira mu maka agateeberezebwa nti mwemwali emirambo gino agamba nti bagala bwenkanya ku ngeri muganda wabwe gyeyabulamu. Poliisi etegezeza nga bwekyali mukuyigga omukuumi mu maka gano kubanga yayinza okubawa amawulire gebetaaga.