EMIDAALI EGIGABWA PULEZIDENTI :Amaka g’obwa pulezidenti gasabye obuwumbi buna
Wofiisi ya Pulezidenti eyagala ensimbi obuwumbi buna n’obukadde bibiri mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja nga zaakugula midaali omukulembeze gyalina okuwa abakulembeze b'amawanga abalala mu ngeri y'okubasiima. Mu mbalirira eno wofiisi ya pulezidenti era esabye obuwumbi obusoba mu 30 nga zakuzimba woffisi n'okusasula emisaala gya ba RDC n'abawabuzi ba pulezidenti.