EMBUTO MU BAANA: Ab’e pakwach beeraliikirivu olw’omuwendo oguli waggulu
Wabaluseewo obweraliikirivu mu bakulembeze ne bannakyewa mu disitulitikiti ye Pakwach olw'a nnamba y'abaana abafuna embuto nebatuuka n'okuwanduka mu masomero Kino okusinga kiteereddwa ku mbeera y'obwavu eyitiridde mu kitundu kino ne gavumenti obutakola kimala kubunyisa nteekateeka zaayo ez'okubbulula abantu mu bwavu.