EMBEERA Y’EBYENFUNA MU GGWANGA: Bbeeyi y’emmere enkalu eyongedde okulinnya
Gavumenti esabiddwa okwanguwa okukonjoola ekizibu ky'ebeeyi y'emmere etandise okulinnya ng'ekizimba tekinnasamba ddagala. Abamu ku batunuulira ebyenfuna balabudde nti bannayuganda bandyongera okukaluubirirwa embeera gyebujjako naddala ng'eggwanga lya Kenya liyingidde okulonda. Wetwogerera nga beeyi y'emmere naddala obuwunga erinnye nga kati kilo eyali egula silingi 1800 egula 3500. Bbeeyi y'ebintu ebirala nga ebijanjaalo ne Sukaali naye yeyongedde.