Embeera y’abavubi e Buvuma: Joel Ssenyonyi ayambalidde Poliisi
Abavubi ku nnyanja nnalubaale basisinkanye akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi ku bizinga by'e Buvuma,nebamutuma ategeeza abakulu mu gavumenti nti embeera gye bayisibwamu egenderera kubalemeza mu bwavu. Abakwata-nkasi, akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi, bamusisinkanye mu katawuni k'e Kitamiiro ku bizinga Buvuma ebamulombojjera ennaku gyebayitamu.