Embalirira ya 2025-2026: Bannakyewa bennyamivu nti eby’enkizo bisaliddwako ssente
Ng’eggwanga lirindirira okusoma kwa bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 okugenda okubaayo sabiiti eno gyetutandise, ab’ebitongole by’obwa Nakywewa bennyamidde olwa gavumenti okusala ku nsimbi ezigenda ku bintu eby’enkizo ng’ebyobulamu, eby’enjigiriza kwossa eby’obulimi. Bano bagamba, bannayuganda bandiviiramu awo mu mbalirira eno, anti nnyingi ku nsimbi ezigirimu zigenda kusasula mabanja kwossa okusasula emisaala gy’abakozi ba gavumenti.