EKITTAVU KY’ABAKOZI: NSSF egamba terina ssente zisasula 20%
Abakulira ekittavu ky'abakozi ekya NSSF bakawangamudde nga mu kiseera kino bwebatalina nsimbi ezikunukiriza mu buwumbi lwenda okusasula ebitundu 20% ku nsimbi abantu abawezezza emyaka 45 zebalina okufuna singa ebbago eriri mu palamenti liyisibwa. Akulira ekitavu Richard Byarugaba agamba newankubadde bawagira eky'okusasula ebitundu 20%, balina kusooka kufuna magoba mu buziness zetandikawo wamu n'okufuna ensimbi abakozi zebateraka olwo balyoke basasule.