Ekitiibwa ky’abasajja mu maka: Buganda ebategekedde ttabamiruka
Katikkiro Charles Peter Mayiga ayagala abasajja mu Buganda baddemu okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe olwo lwe banaweebwa ekitiibwa kye bayayaanirwa. Ono agamba abasajja bangi beesuuliddeyo gwa nnaggamba mu kukola ebibakakatako mu maka , ekiviiriddeko n’obutabanguko mu maka okweyongera. Bibadde mu ttabamiruka w’abasajja ategekeddwa obwakabaka bwa Buganda.