Ekita ekitava ku ssengejjero, Minisita Muhwezi naye ayagala kuddamu kukiikirira be Rujumbura
Maj. Gen. Jim Katugugu Muhwezi y’omu ku bannabyabufuzi abaweerezza mu gavumenti eno okuviira ddala mu mwaka 1986 nga NRA kyejje ewambe.Ono aweerezza mu bifo by’obukulembeze eby’enjawulo,kyoka nga eno bwakiikirira ekitundu kye Rujumbura mu disitulikiti ye Rukungiri nakaakano.Tukitegedde ne mu kisanja kino ekijja. Muhwezi ayagala kuddamu kukiikirira kitundu kino okutuusa 2031, mbu kyoka nga bwekiggwako tadda.