Ekibiina ki PFF kirina enteekateeka z’okutalaaga eggwanga okukunga obuwagizi
Abakulembeze b’ekibiina ki People’s front for freedom balina enteekateeka y’okutalaaga eggwanga okukunga obuwagizi n’okuwandiisa ba mmemba abapya nga beetegekera akalulu ka bonna aka 2026. Okusinziira ku Ibrahim Ssemujju Nganda, ekibiina kyakuvuganya ku bifo by’obukulembeze mu kalulu akajja wabula ng’era n’ekyokwegatta ku bibiina ebirala ebiri ku ludda oluvuganya nakyo kirowoozebwako.