EFFUJJO MU KAMPEYINI :Poliisi yaakakwata 16 e Isingiro, Rubanda ne Mubende
Poliisi etubuulidde nti yakakwata abantu 16 okuva mu disitulikiti okuli Isingiro, Rubanda ne Mubende ku byekuusa ku kukola akavuyo mu kakuyege w'akamyufu ka NRM agenda mu maaso. Bbo abakulu mu kibiina ki NRM batugambye nti okulwanagana kuno kubawadde ekyokuyiga kwamaanyi, kyoka nga bonna abakwenyigiddemu bagenda kukangavvulwa nga bassekinoomu. Mu kaseera kano abantu basatu bebaakattibwa bukyanga NRM entandika ntekateeka za kulonda bakukembeze abaggya, nga omu yattibwa e ssembaule ate babiri battiddwa e Isingiro.