EDDAGALA LYA SSENFUKA: Waliwo abasabye gavumenti eve mu kusaaga
Waliwo abawagizi n’abakunzi mu kibiina kya NRM abavuddeyo okukunga ab’ebibiina ebirala okuzza ebbali eby’obufuzi balwanirire abavuddeyo okunoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi erijjanjaba ekirwadde kya kkansa ne sukaali. Bano bagasse eddoboozi lyabwe ku ly’abamu ku bantu abatutumufu mu ggwanga abaavaayo gye buvuddeko nga nabo balaajanira gavumenti okukakasa eddagala lya ssenfuka n’okumuvujjirira mu by’ensimbi.