EDDAGALA LYA COVIDEX: Pulofeesa Ogwang aweereddwa yiika 5 okuzimbako ekkolero
Abakola eddagala lya Covidex ebintu byongedde okubabeera talatibu kubanga ab’ekitongole ki Uganda Investment Authorty ekirela abasigansimbi ba kuno babawadde olukussa okwegazaanyiza mu by’enkizo byonna ebiweeba abasigansimbi abagwira. Ebimu by’enkizo bino aba Jena Herbals Uganda Limited bye bagenda okufunamu, kuliko okusonyiyibwa omusolo okumala ebbanga eggere. Gyebuvuddeko, eddagala lyabwe lya kakasibwa ab’ekitongole ki National Drug Authority olwo bangi ne batandika okulyeyuna okubayamba ku kirwadde ki Covid ekijojobya ensi