Ebyabadde e Kasambya:Abaasimattuse n’ebisago balunyumya, basatu bakwatiddwa
Embeera ya bunkenke ddala mu constituency ye Kasambya mu disitulikiti ye Mubende oluvanyuma lw'omuntu omu okubwa amasasi mu nsasagge eyabaddewo akawungeezi k'eggulo ng’abawagizi babavuganya ku bendera ya NRM ku kifo ky'omubaka w'ekitundu basisinkanye Ensasagge eno yabaddemu n'okwokya ’ebiduka bisatu okwabadde emmotoka ne pikipiki bbiri nga bya Henry Muhumuza avuganya n'omubaka aliko owekitundu kino David Kabanda. Poliisi egamba eriko abantu beekutte okugiyambako mu kunoonyereza kwayo ku mbeera eno eyabadde ku kyalo Kyentulege mu ggombolola y’e Nabingoola.