EBYA BBAASI YA YY EYAGWA: Waliwo famire etannalaba mulambo gwa muntu waabwe
Aba Famile ya Canon Jimmy Musimbi eyafiira mu kabenje ka bbaasi ya YY ku bbalaza ya Sabiiti eno, basabye gavumenti ekole okunoonyereza okumala okuzuula omuwendo omutuufu ogw’abantu abaafiiramu bbaasi eno. Bino babyogeredde mu kusaba okwategekeddwa ku Lutikko ya St Andrews E Mbale. Aba Famile ya Musimbi abade akulira akakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti ye Manafwa, bategeezezza nga n’egyebuli eno bwe batannafuna mulambo gwa muntu waabwe era mu kusaba baakozesezza kifaananyi kye.