Eby’okwerinda mu Kawempe bibadde binywevu, waliwo abakwatiddwa
Ab’ebyokwerinda okuva mu buli kitongole basiibye bateevunya mu Kawempe North abatuuze gyebakedde okukuba akalulu k’okujjuza ekifo ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya. Bangi ku bano tebabade mu byambalo, abalala nga batambulira ku mmotoka zamaggye, abandi Pikipiki.