EBY’ENFUNA MU GGWANGA: Polisii egumizza bannayuganda
Banka ya Uganda enkulu etegeezezza nga ebbanja eggwanga lyelirina ery'obuwumbi emitwalo omunaana ....... bweritalina kutiisa bannayuganda kubanga terinatuuka watiisa. Abakulu mu banka eno nga bakulembeddwamu akola nga gavana Michael Atingi-Ego babadde mu kakiiko ka palamenti akakola ku byensimbi mwebategeezezza nti enkyukakyuka ye nsimbi engwira ku katale nayo eviirako ebbanja lino okukyuka. Wabula bano bagamba nti kyetaaga eggwanga okukola ennyo naddala okusobola okubaako byetutunda okwongera okuyingiza ensimbi mu ggwanga.