EBY’AMABAATI G’E KARAMOJA: Joshua Abaho akkiriziddwa okweyimirirwa
Kkooti ewozesa egy'obukenuzi ekkirizza Joshua Abaho omuyambi wa minisita w'ensonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde munaana obw'obuliwo. Ono yeeyimiriddwa abantu bataano ku bukadde 150 ezitali za buliwo. Ono emisango gy'okuwuwuttanya amabaati g'e Karamoja agawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu bitaano agyegaanye.