EBIRAGIRO KU KWERINDA MULIRO: Amasomero googedde ebigalemesa okutuukiriza
Kizuuse ng'Amasomero mangi naddala ag’omubyalo teganassa mu nkola biragiro byayisibwa gavumenti ku kwetangira omuliro n'okutaasa abayizi ng'obubenje bw'omuliro buguddewo Abaddukanya amasomero gano bagamba nti tebasola kussa biragiro bino mu nkola olw'ebbula ly'ensimbi Kyokka mangi ku masomero g'omukibuga gasobodde okuteeka ebiragiro bino mu nkola.