EBIBONEREZO KU KUSUULA KASASIRO:Waliwo abaagala NEMA esooke esomese abagenda okukosebwa
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ki National Environment Management Authority-NEMA kisabiddwa okugira nga kirindako okukwasisa amateeka amapya ku kukuuma obutonde agaliko ebibonerezo ebikali eri abagamenya Okukwasisa amateeka gano kutandika mwezi gujja wabula ng'abakwatibwako ensonga eno bagamba nti tebeebuuzibwako Bino bibadde mu nsisinkano ekitongole kya KCCA ne NEMA n'abakolembeze b'enzikiriza, abavuzi ba booda-booda, takisi ssaako ba nnanyini bbaala .