Ebbula ly’amazzi e Kyotera: bano embeera ebanyinze
Amazzi amayonjo kyekimu ku bikuuma abantu nga balamu. Wabula waliwo ebitundu bya Uganda ebimu amazzi ekika kino gyegali amazibu okufuna. Mu distulikiti ye Rakai, yeri ebbula lyamazzi amayonjo ku byalo ebiweerako , nga kumpi abantu bagasena mu bidiba. Katulabe ebiri ku kyalo Kyakaseenene, mu Ggombolola ya Kibaale district eno ey'e Rakai.