E Mubende eriyo famire erumiriza omupoliisi okwezza ebyapa
Waliwo Omukadde ow’emyaka 90 ne muwala we ow’emyaka 60 abalumiriza omusirikale wa poliisi e Mubende okutwala ebyapa by’ettaka lyabwe mu lukwesikwesi lw’okubimuterekera obulungi kyokka n’atuuka okubeefuulira nga bw’atakyabirina. Bino bagamba baabimuwa mu 2019 kyokka mu kiseera kino waliwo abantu abatandise okubatiisatiisa nga baagala okubagoba ku ttaka kwe bali. Poliisi ekakasizza nga bw’eyingidde mu nsonga zino okulaba nga bazuula ekituufu.