E Kween basanyukidde emidaali gya Kiplimo, Chelimo ne Kiplangat
Ekyalo Kapnurkut mu district ye Kween kiwuumye ab’oluganda wamu n'emikwano bwebakunganidde mu maka ga musajja mukulu Steven Alap Simba okumujagulizaako olw’abatabani be basatu okuli Jacob Kiplimo, Oscar Chelimo ne Victor Kiplagat okuwangulira eggwanga emidaali mu mpaka z’emisinde egy’ensi yonna ezaali mu kibuga Oregan, mu Amerika wamu ne mu Commonwealth games ezaali e Birmingham mu Bungereza. Kiplimo yawangula emidaali gya zaabu ebiri mu mpaka za Commonwealth games, n’ogwekikomo mu world Athletics championships.