E Busia waliwo abatandise okukukusa kasooli
Olwebbula lya kasooli eryeyongedde mu ggwanga lya Kenya nga kiva ku gavumenti yaayo okuwera kasooli ava mu uganda, waliwo abasuubuzi okuva mu ggwanga lya kenya abatandise okukukusa kasooli ono nga bamuyisa mu bukubo obwa ppanya. Tukitegedde nti ebbeeyi ya Kasooli nayo erinnye okuva ku nnusu lusanvu okutuuka ku lukumi mu bibiri ekkiro.