E Bukedea amataba gabasazeeko, ne Bududa basattira
Ebibamba omuli amataba n'okuyigulukuka kw'ettaka bikyagenda mu maaso n'okugoya ebitundu bye Elgon ebitali bimu W’owulira binno ng’okuyiguluka kw’ettaka kwa mirundu ettaano kulabidwaako mu y’e Buduuda nga kuno kulesa ennyumba wamu n’enimiro z’abantu nga zisaanyiziddwa. N’abantu mu distulikiti y’e Bukedea nabo gebakaaba ge bakomba olw’amataba agabalumbye nga kiva ku nnamutikkwa w'enkuba eyattonnya wiiki ewedde