COMMON MAN’S PARTY: Munyagwa atongozza ekibiina ekipya, waakuvuganya ku bwa Pulezidenti
Ebibiina by'obufuzi buli lukya byeyongera okumeruka wakati ng'eggwanga litandise okwetegekera akaluulu ka 2026 nga olwaleero n'eyaliko Omubaka Wa Kawempe South Mubaraka Munyagwa naye atongozza ekibiina ekipya.Ekibiina kino kyeyubudde kuva mu Uganda Economic Party ekyatandikibwawo mu 2004 era Munyagwa alangiridde nti yagenda okukikwatira bendera okuvuganya ku kifo kya pulezidenti mu Kalulu akajja aka 2026.