BBOMU EZAATULIKIRA MU KAMPALA: Mukaaga basindikiddwa mu kkooti enkulu
Abantu mukaaga abagambibwa okuba nga balina akakwate ku bajambula ba ADF era nga bagambibwa nti baliko kyebamanyi ku bbomu ezzatulisibwa mu Kampala mu 2021 basindikiddwa mu kkooti enkulu ewozesa bakalintalo.Kigambibwa nti bano bebaatendeka omusajja ayitibwa Uthman eyetulisizaako bomu ku luguulo lwa Palamentary avennue mu Kampala.Abasindikiddwa mu kkooti enkulu kuliko Kyeyune Isma, Walusimbi Musa , Mubiru Musa, Kabanda Musa , Mwebe Muhammad ne Kabong Umar Ajobe . Bano bavunaanibwa emisango esatu okuli obutujju , okuvujjirira ebikolwa eby'obutujju saako okubeera mu kibiina ky'obutujju .Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa 2007 ne 2020 omukaaga nabalala abatanaba kukwatibwa mu bitundu bya Masekati n'obuvanjuba bwa Uganda ne DR Congo bawaayo ssente n’obuyambi obwakozesebwa mu bikolwa ebyokutendeka abajambalua ba ADF nga bamanyi bulungi nti kyebakola kimenya matteeka .