BBEEYI Y’EBINTU EYEEKANAMYE : Amasomero gaakukomekkereza olusoma luno ng’ennaku zikyali
Okulinnya kw’emiwendo gy’ebintu mu ggwanga kwandisindikirizza amasomero agamu okuggalawo ng’ennaku z’okuwummula tezinatuuka. W’owulirira bino ng’a kiro y’obuwunga bwa kasooli egula 4,200 n’okusoba ate ey’ebijanjalo eri mu 4,000/-Kati abaddukanya amasomero bagamba nti bali ku mabanja kubanga ensimbi ze baabalirira okuliisa abayizi z’ekubisizaamu kumpi emirundi essatu.Herbert Kamoga aliko ab’amasomero b’ayogeddeko nabo mu district ye Luwero abatubuulidde nga bwebakalubirizibwa mu by’endya y’abayizi.