BBEEYI Y’EBINTU EPAALUUSE: FDC eyagala gav’t esale ku misolo gy’ebintu ebyenkizo
Ekibina ki Forum for Democratic Change kitadde Gavumenti ku nninga eveeyo ku miwendo gyebintu egyeyongedde okulinya enaku zino nga kikaluubirizi obulamu bwabantu bungi .
Bano bagamba nti gavumenti kati esaana egye emisolo ku bintu ebikozesebwa naddala mu maka .
FDC era evumirride obutali butebenkevu obugenda mu maaso mu bitundu bye Teso nga mwemuli okuta abantu n'okuba ente