BBEEYI Y’AMAFUTA AKYALI WAGGULU: Ababaka batambulidde ku bugaali, FDC ewera
Ebbeeyi y'amafuta erabika ng'ekyagaanidde waggulu yadde nga aba URA ku nsalo e Busia ne Malaba bategeeza nga bwebakoze ku mmotoka z'amafuta eziwera okuyingira eggwanga. Olwaleero waliwo ababaka abaggyidde ku bugaali ku palamenti okwongera okwoleka nti embeera y'amafuta tennatereera. Ku masundiro g’amafuta agamu ge tutuuseeko wano mu bitundu bya Kampala, Liita y'amafuta ebadde egula wakati w'enkumi nnya mu lunaana n'e ttaano ebitaano.