Batantu amezze Onyango, Babu akubye omutanzaniya mu mpaka z'ebikonde
Munnayuganda Musa Batantu awangaalira e Dubai olunaku lw’eggulo yakubye Ignatius Onyango mu mpaka zebikonde eza Dubai vs. Uganda e Lugogo mu buzito dwa Light heavy. Mu ngeri y’emu ne Munnayuganda omulala Yusuf Babu yawangudde olulwana lwe olwokubiri mu bikonde byensimbi bwe yakubye Omutanzania Alphonce Mchumiatumbo mu buzito bwa heavy weight.