BannaKibiina ki UPC abakubye ebituli mu ttabamiruka eyatuuziddwa Jimmy Akena
Waliwo BannaKibiina ki UPC kko ne bannamateeka abakubye ebituli mu ttabamiruka eyatuuziddwa Pulezidenti wa UPC Jimmy Akena olunaku lw’eggulo, bano bagamba Akena teyagoberedde mateeka mu kutegeka ttabamiruka ono. Kyokka Akena abasekeredde n’abasaba baddukire mu mbuga z’amateeka bwebaba baagala okuwakanya ttabimiruka ye gw’alumirirza okuba nga yatudde mu mateeka.