Banna NRM e Lwemiyaga bakubiddwa emiggo, banyiga biwundu
Abamu ku bannakibiina ki NRM mu ssaza lye Lwemiyaga mu kiseera kino banyiga biwundu oluvannyuma lw’abavubuka be balumiriza okuba abawagizi ba munnamagye eyawummula Brig. Emmanuel Rwashanda okubakkakanako ne babakuba mu kulonda kw’ekibiina okwabaddewo olunaku lw’eggulo. Okulonda kwabadde ku byalo munaana gye kwaddiddwamu oluvannyuma lw’emivuyo egyaliwo ku lw’okubiri n’olwokusatu. RDC w’e Ssembabule Jane Frances Kagayi naye kata bamugajambule ng'agezaako okugonjoola obuvuyo obwabaddewo.