BAKKANSALA BE FORT PORTAL: NRM ne NUP baanukudde ku by’ekivvulu kye baasaba Bobi Wine
Ekibiina kya NRM ne NUP baanukudde bakkansala okuva e Fortportal abawandiikidde Bobi Wine abayambe ategeke ekivvulu e Fortportal bajjemu ensimbi ezinaayamba okujjanjaba ba kkansala bannaabwe 2 abali mu malwaliro mu kiseera kino gyebaabasabidde obukadde 256 bwebatalina. Ba kkansala bano bagamba nti ensonga eno ereme kuteekebwamu byabufuzi, kubanga bakirabyeko nga Kyagulanyi akola ebivvulu ebweru w’eggwanga ebivuddemu ensimbi eziyambye abawala abali e Dubai okudda kuno.