BA KANSALA ABAAKWATIBWA: 5 beeyimiriddwa, 9 ebyabwe bijulidde wiiki ejja
Kkooti y’oku luguudo Buganda e Kampala eyimbudde ba kansala 5 kw’abo e 14 abaakwatibwa wiiki ewedde ne baggulwako omusango gw’okukuma omuliro mu bantu. Kkooti b’ekkiriza okweyimirirwa ba kkansala abakyala 4 ne Gadafi Nasur asabye kkooti emukkirize agende afune obujjanjabi olw’obuvune poliisi bw’eyamutuusaako nga emukwata. Ba kkansala abalala 9 kkooti ya kuwulira okusaba kwabwe okweyimirirwa nga ennaku z’omwezi 14 omwezi guno