ANGEL AMANYABYONA: Omwana w’e kabale eyafudde olw’okulumwa embwa aziikiddwa
Omwana Angel Amanyire gwe twakulaga ku lwomukaaga ngaddusiddwa mu ddwaliro oluvannyuma lw'okutandika okuboggola ng'embwa aziikiddwa olwaleero oluvannyuma lw'okufa olunaku lwajjo. Abakulembeze mu ggombolola ye Kibunga bazadde b'omwana ono gye bawangaalira, bagamba nti balina ekizibu ky'embwa ezitaayaaya nga kwogasse n'ebibe era nga basabye gavumenti ebeeko engeri gyebibataasaako.