Amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba; Uganda etande endagaano ne kampuni ya Masdar
Uganda etadde emikono ku ndagaano ne Kampuni emu mu ggwanga lya United Arab Emirates okukola amasannyalaze agava mu maanyi g’enjuba ga megawatts 150. Minisita avunaanyizibwa ku by’amasannyalaze Ruth Nankabirwa nga aliwamu ne ssaabaminisita Robinah Nabbanja yatadde omukono ku ndagaano ne Kampuni ya Masdar mu kibangirizi ewali ensisinkano y’amawanga mu kaweefube w’okulwanyisa okwonoona obutonde bw’ensi. Omusasi waffe Jjingo Francis Yalina ebisingawo.