Minsa Kabanda aliko entanda gyasibiridde abakyala ab’omu Kisenyi
Minister wa Kampala Minsa Kabanda asabye abakyala okwettanira emirimu gy’emikono okusobola okwejja mu bwavu n’okwewala obutabanguko mu maka. Kabanda abadde mu kisenyi gyasinzidde nagabira abakyala ebintu ebyenjawuli ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo. Ate abakwanaganya enkola eya Youth Wealth Creation Programe” eddukanyizibwa amaka g’omukulembeze w’egggwanga baliiko ebintu ebyenjawulo bye bawadde abavubuka mu ggombolola ye Lubaga okwetandikirawo emirimu.